09/05/2020
SSEKABAKA MUKAABYA WALUGEMBE MUTEESA I ( 1854 - 1884 )
ONO YALI AZALIIBWA OMUKYALA OW'ENJOVU.
Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa l , ye Kabaka wa Buganda ow'amakumi asatu mu luse lwa Kabaka Kintu . Ssekabaka Muteesa l yazaalibwa mu lubiri lwa kitaawe olwayitibwanga Batandabeezaala e Mulago . Ono mutabani wa Ssekabaka Ssuuna ll nga maama we yali Omuzaana Muganzirwazza . Yatuula ku Nnamulondo mu mwaka gwa 1854 n'afuga okutuuka mu mwaka gwa 1884. Yalina ba Lubuga babiri ; Baliraala ne Muggale . Omulongowe yali Bakumba ate ejjembe lye yalituuma Manyonyi .
Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa l yalina ba Katikkiro bataano ; Kayiira eyali yeddira e Mbogo , Kisomose nga yali wa Mmamba , Mayanja nga yali wa Nkima , Mulere nga yali wa Njovu ne Mukasa eyali yeddira Omusu .
Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa l yalina abakyala abawerako era bano beebamu kubbo ; Abisaagi Baagalayaze nga yali wa Ng'onge , Gwomujjidde Kabejja Kalingennyana nga yali wa Mbogo , Kiribakka nga yali wa Mmamba , Nnaabagereka Kaddulubaale nga yali wa Nvubu , Ndibuwaakaani nga yali wa Mmamba , Namakula nga yali wa Lugave n'abalala .
Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa l agambibwa okuba nga yaleka Abalangira n'Abambejja abawerera ddala 98 . Bano beebu kubbo ; Daniel Basammula Mwanga , Omulangira Kiweewa Mutebi , Kimera , Omumbejja Nandawula , Omulangira Kalema , Kayondo , Omumbejja Muggale , Nassolo , Omumbejja Nakalema , Omumbejja Nalumansi , Omumbejja Nalumansi , Ombembejja Nakamanya , Omumbejja Mpologoma n'abalala .
Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa l yabeeranga Kasubi mu Kyaggwe ebiseera bye ebisinga obungi bweyali avubuka . Nga atudde ku Nnamulondo , Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa l yasooka n'akuba ekibuga kye ku lusozi Bbanda , wabula eno yavaayo oluvannyuma , n'akuba ebibuga ebirala ebiwerako nga ; e Nakatema , Nabbingo , Kabojja ne Kasubi Nabulagala .
Okusinziira ku byafaayo , kigambibwa nti Ssekabaka suuna ll yali asiimye Mulangira Kajumba yaaba amuddira mu bigere . Wabula , abatongole n'abaami ba Kabaka abalala nga bakulemberwamu Katikkiro Kayiira , baatya Omulangira Kajumba Olw'obukambwe bweyalina era baalaba nga yali tajja ku salika mu maaso . Wano webaava nebakkirizisa Kabaka n'alonda Muteesa l .
Obukulembeze bwa Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa l bwalimu ebisoomoozo bingi naddala nga biva ku ba Cceeruppe abaali bayaayaana okuyingirira ssemasi Africa .
Ssekabaka yasooka kusisinkana na Bawalabu ( Arabs ) abasuubuzi abajja mu kyasa Kya 16th n'ekye 17th . Bano , bayingirira amawanga ga Africa nga basuubula Amasanga , Zaabu n'Abaddu bebatwalanga okubalimira mu ssamba zaabwe ez'amajaani , ebikajjo ko n' okubakozesa ng'Abaddu mu bifo eby'enjawulo . Bano baabakung'anyiza mu bifo nga Zanzibar , Pemba , Bagamoyo , Ujiji , n'ebitundu ebirala ku lubalama lwa Ssemayanja Indian ocean . Mubiseera ebyo , ssente ezempapula oba ebinusu byali tebiriiwo . Mukuwanyisiganya , Abawalabu baawangayo Mbira , eby'Okulwanyisa , endabirwamu , n'ebirala bingi . Ssekabaka Muteesa l ajjukirwannyo ng'omu eyagaana okutunda abantube eri abagwiira abaali babayisa ng'ensolo .
Ssekabaka Muteesa l yayagala nnyo okumanya okusukka ensiiye Buganda . Wano weyanonyeza ekibinja Kya ba Cceeruppe ekirala nga alina essuubi nti ob'olyaawo , bano bayinza okubaako enkulaakulana gyebagatta ku nsiiye Buganda ko n'abantube .
Mukunonyereza kuno mweyasisinkanira ba Cceeruppe bannaddiini aba Eauropean Missionary Explorers abaali bakulembera M. Stanley nga kigambibwa nti ono yali ku mulimu gwakuzuula nsibuko ya mugga Nile . Ng'enkola bweyali , Ono yatwalibwa era nayanjulirwa Muteesa nebateeseganya ku bintu bingi ddala era nekitandikawo enkolagana Wakati wa Buganda ne Bungereza . Kino kyanafuya nnyo kyenkana nakugobera ddala Bawalabu olwo , Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa l n'atandika kukolagana nabanna ddiini bano .
Ssekabaka Mukaabya ajjukirwannyo olwokuba omukambwe ennyo nnaddala emyaka ejaasooka . Naye olwokuwanjaga kw'abantu , yakyuusaamu mu nkola ye eyeebintu era n'atandika okuyita mu kuteesanga .
Ssekabaka Muteesa l ajjukirwa nnyo era alisigala mu bitabo olubeerera nga Kabaka eyawandiikira abazungu ng'abayita okujja basomese ensiiye okusa n'okuwandiika . Era Wano n'eddiini engwira weyatandikira oluvannyuma n'ebuna ebitundu ebirala Kati eyitibwa Uganda eyaawamu .
Ssekabaka Muteesa , nga ali wamu ne basajjabe nga Katikkiro Kayiira , baakola ebintu bingi nnyo ebyazimba Buganda empya okugituusa ku mulembe kwetambulira leero .
Mumwaka gwa 1884 , Ssekabaka Muteesa l yakisa omukono e Nabulagala Kasubi era n'aterekebwa mu Masiro ge Nabulagala Kasubi mu Ssaza lye Kyaddondo .
Wammanga , ekifaananyi Kya Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa l .